Radiosimba
22 subscribers
4.36K photos
769 videos
4.69K links
The best Luganda Station in the World - Broadcasting exciting entertainment, news, humor and music from Uganda. 97.3 FM Ffe Mmwe Mmwe Ffe
Download Telegram
Pastor Yiga asindikiddwa e Luzira
https://www.radiosimba.ug/pastor-yiga-asindikiddwa-e-luzira/

Omusumba w’Abalokole Yiga Augustine asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya Mwanga II navunaanibwa omusango gw’okugezaako okusaasanya ekirwadde ekikontana n’akawayiiro 171 PCA. Yiga omusango agwegaanye mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka Timothy Lumunye. Omulamuzi amusindise Luzira ku alimanda.
The post Pastor Yiga asindikiddwa e Luzira (https://www.radiosimba.ug/pastor-yiga-asindikiddwa-e-luzira/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Tewali akirizibwa kukuba Munnayuganda – Gen. David Muhoozi
https://www.radiosimba.ug/tewali-akirizibwa-kukuba-munnayuganda-gen-david-muhoozi/

Omuduumizi w’eggye lya Uganda People’s Defence Force – UPDF Gen. David Muhoozi avuddeyo neyetondera abasuubuzi abakubwa abasirikale b’eggye ekkuuma byalo erya LDU bwebaali batekesa ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu nkola ekyokuwera obutale obutali bwa mmere wamu n’entambula ey’olukale ku lw’okuna.Gen. Muhoozi agamba nti tewali muntu yenna alina ddembe kukuba Munnayuganda, baali basobola okukozesa...
The post Tewali akirizibwa kukuba Munnayuganda – Gen. David Muhoozi (https://www.radiosimba.ug/tewali-akirizibwa-kukuba-munnayuganda-gen-david-muhoozi/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Abantu e 82 abakereddwa olwaleero bonna tebalina kirwadde kya COVID-19 https://t.co/xFiHR7xc53
Col. Walaka alondoddwe okuduumira aba LDU mu Kampala https://t.co/IofCCTptr1
Abantu e 82 abakereddwa olwaleero bonna tebalina kirwadde kya COVID-19
https://www.radiosimba.ug/abantu-e-82-abakereddwa-olwaleero-bonna-tebalina-kirwadde-kya-covid-19/

#COVID19UGUpdates; Minisitule y’ebyobulamu egamba nti Abantu 82 abakebereddwa olunaku olwaleero ebivaayo biraga nti bonna tebalina kirwadde kya #COVID19. Yuganda esigaddeyo kubantu 33 abalina obulwadde buno. #COVID19UG #COVID-19 #COVID2019UG #COVID2019
The post Abantu e 82 abakereddwa olwaleero bonna tebalina kirwadde kya COVID-19 (https://www.radiosimba.ug/abantu-e-82-abakereddwa-olwaleero-bonna-tebalina-kirwadde-kya-covid-19/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Col. Walaka alondoddwe okuduumira aba LDU mu Kampala
https://www.radiosimba.ug/col-walaka-alondoddwe-okuduumira-aba-ldu-mu-kampala/

Col. Mike Walaka Hyeroba alondeddwa okuduumira abasirikale b’eggye ekkuuma byalo erya LDU mu Kampala yonna okusobola okunyweza obukuumi wamu n’okukwasisa ebiragiro.
The post Col. Walaka alondoddwe okuduumira aba LDU mu Kampala (https://www.radiosimba.ug/col-walaka-alondoddwe-okuduumira-aba-ldu-mu-kampala/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Kitalo! Ssekiboobi Kikonyogo afudde
https://www.radiosimba.ug/kitalo-ssekiboobi-kikonyogo-afudde/

Kitalo! Ssekiboobo w’esazza ly’e Kyaggwe eyakawummula Alex Benjamin Kigongo Kikonyogo afudde oluvannyuma lw’okukola dduyiro bwatyo nagenda okwegulira ku mawulire amanye ebifudde mu Ggwanga wabula abadde avaayo nasilituka naggwa tazze ngulu.
The post Kitalo! Ssekiboobi Kikonyogo afudde (https://www.radiosimba.ug/kitalo-ssekiboobi-kikonyogo-afudde/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Abalwadde bakonkomalidde ku ddwaliro e Nakuule https://t.co/ohRYqDWudA
Abalwadde bakonkomalidde ku ddwaliro e Nakuule
https://www.radiosimba.ug/abalwadde-bakonkomalidde-ku-ddwaliro-e-nakuule/

Abalwadde mu Munisipaali y’ e Nansana babukeezezza nkokola nga bulijjo okugenda okufuna obujanjabi ku Ddwaliro lya Nakuule Health centre II, wabula kino kyababuuseeko okutuukayo nga teri musawo n’omu. Robert Kagwire nga yakulira y’ebyobulamu agamba obuzibu bwavudde kukubulwa ntambula ereeta abasawo naye nga bakyayiiya entambula eyinza okukozesebwa.
The post Abalwadde bakonkomalidde ku ddwaliro e Nakuule (https://www.radiosimba.ug/abalwadde-bakonkomalidde-ku-ddwaliro-e-nakuule/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Prof. Mutebile akyali mulamu – Bank of Uganda
https://www.radiosimba.ug/prof-mutebile-akyali-mulamu-bank-of-uganda/

Dr. Adam Mugume, EDR okuva mu Bank of Uganda avuddeyo nategeeza nti ku lwokusatu nga 25, Mar 2020 Governor Prof. Mutebile yasaba okugenda okufuna obujanjabi mu Uganda era nga wakudda ku mirimu nga asuuse.”
The post Prof. Mutebile akyali mulamu – Bank of Uganda (https://www.radiosimba.ug/prof-mutebile-akyali-mulamu-bank-of-uganda/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Abalina sticker ez’ebiccupuli tugenda kubakwata https://t.co/arB5oDcDiS
Abalina sticker ez’ebiccupuli tugenda kubakwata
https://www.radiosimba.ug/abalina-sticker-ezebiccupuli-tugenda-kubakwata/

Minisita w’ebyokwerinda Hon Gen Elly Tumwine: “Bwoba oyagala okuvuga mu Kampala olina okubeera ne sticker. Abo abagezaako okuziccupula mugenda kukwatibwa musibwe kuba entuufu tulina kwetuzirabira.”
The post Abalina sticker ez’ebiccupuli tugenda kubakwata (https://www.radiosimba.ug/abalina-sticker-ezebiccupuli-tugenda-kubakwata/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Abalina COVID-19 mu Yuganda baweze 45 https://t.co/bO4TfxXZtb
Abalina COVID-19 mu Yuganda baweze 45
https://www.radiosimba.ug/abalina-covid-19-mu-yuganda-baweze-45/

Dr. Diana Atwine yavuddeyo nategeeza nga olunaku lw’eggulo bwebakebedde samples 302 wabula 1 ku zzo yeyasangiddwa nga nnyini yo alina ekirwadde kya #COVID-19. Kati abalwadde mu Yuganda bonna awamu baweze 45.#StaySafeUG #COVID19UG #COVID2019
The post Abalina COVID-19 mu Yuganda baweze 45 (https://www.radiosimba.ug/abalina-covid-19-mu-yuganda-baweze-45/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Poliisi ekutte omutunzi w’eddagala e Soroti
https://www.radiosimba.ug/poliisi-ekutte-omutunzi-weddagala-e-soroti/

Uganda Police Force e Soroti ekutte Kungu Lazarus 24, nga musawo wakinnansi lwakulimba bantu nga bweyazudde eddagala er’ekinnansi eriwonya #COVID-19 n’ekigendererwa eky’okufuna ssente ku bantu mu Ddwaliro lya Soroti Regional Referral Hospital.
The post Poliisi ekutte omutunzi w’eddagala e Soroti (https://www.radiosimba.ug/poliisi-ekutte-omutunzi-weddagala-e-soroti/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Akatale ko Kalerwe kagaddwa lwakulemererwa kulaga nteekateeka yakulwanyisa COVID-19
https://www.radiosimba.ug/akatale-ko-kalerwe-kagaddwa-lwakulemererwa-kulaga-nteekateeka-yakulwanyisa-covid-19/

Hon Betty Amongi wamu n’ekitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCA bagaddewo akatale ko Kalerwe olw’okulemererwa okutuukiriza ebiragiro ebyateekebwawo okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19. Balagidde abakulira akatale kano okwetereeza baveeyo n’enkola enagobererwa okulwanyisa omujjuzo mu katale mu naku bbiri zokka olwo kaddemu okuggulwawo ku bbalaza. #COVID19UG #StaySafeUG #StayHomeUG
The post Akatale ko Kalerwe kagaddwa lwakulemererwa kulaga nteekateeka yakulwanyisa COVID-19 (https://www.radiosimba.ug/akatale-ko-kalerwe-kagaddwa-lwakulemererwa-kulaga-nteekateeka-yakulwanyisa-covid-19/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).
Bakutte abadde ayambadde ebyambalo by’amaggye asobole okuvuga emotoka
https://www.radiosimba.ug/bakutte-abadde-ayambadde-ebyambalo-byamaggye-asobole-okuvuga-emotoka/

Enkya yaleero mu Divizoni y’e Nakawa abasajja babiri bakwatiddwa ku Check Point y’e Nakawa ku Spear Motors nga bambadde yunifoomu y’eggye ekkuuma byalo. Bano kubaddeko Agaba Michael 35, nga mutuuze w’e Luteete Kerezia Zone Kyaddondo East mu Disitulikiti y’e Wakiso nga abadde avuga emotoka nnamba UBF 472F nga Yunifooma abadde agitaddeko amayinja ga Captain n’essaati...
The post Bakutte abadde ayambadde ebyambalo by’amaggye asobole okuvuga emotoka (https://www.radiosimba.ug/bakutte-abadde-ayambadde-ebyambalo-byamaggye-asobole-okuvuga-emotoka/) appeared first on Radio Simba - Ennene (https://www.radiosimba.ug/).