Radiosimba
44 subscribers
4.36K photos
769 videos
4.84K links
The best Luganda Station in the World - Broadcasting exciting entertainment, news, humor and music from Uganda. 97.3 FM Ffe Mmwe Mmwe Ffe
Download Telegram
#simbakulutimbe Wuuno omuzadde eyalumbiddwa ekirwadde ekikambwe ne kimukuba ku ttaka n'alaajana oluvannyuma lw'okuyambako mutabani we omulimu gw'okusomero (homework) ogw'amuviiriddeko okukanuka.
Ooo....bambi musajja wattu nga yalabye!
Yaani waawa mutabani we asoma mu kibiina ki?

Byonna birinde mu Kunigga mu Kyewuunyisa ku 11:00a.m-12:00p.m https://www.facebook.com/1006085467847562/posts/1144200167369424
#simbakulutimbe Wabaddewo vvaawo mpitewo enkya yaleero abakungubazi bwebavudde mu mbeera nga bagamba nti Poliisi n'amaggye bibadde bigezaako okukozesa eryanyi okutwala omubiri gwabadde Omubaka wa Kawempe North Ssegiriinya Muhammad okuva mu maka g'abakadde be ku Kyalo Butale bagutwale ku kisaawe ky'e Butale Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba wamu ne Gavumenti gyebabadde bategeze emikolo gyokumukungubaigra.
#ffemmwemmweffe
#fighthardmrupdate
#fighthardmrupdates https://www.facebook.com/1006085467847562/videos/641823995175409
#simbakulutimbe Aboogezi ab'enjawulo bagenda mu maaso nokwogera ku mukolo ogwokubiri ogwokuziika abadde Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates nga guno gwategekeddwa Omubaka Mathias Mpuuga Nsamba.
Video Credit; Spark TV
#ffemmwemmweffe
#fighthardmrupdate
#fighthardmrupdates https://www.facebook.com/1006085467847562/videos/1820531048688925
#simbakulutimbe Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Abantu b'e Kawempe munsaasira olwokufiirwa Ssegiriinya naye nange mbasasidde olw’okufa kwa Ssegiriinya era nsaba nnyo mufune omukulembeze omulala alinga ye”.
#ffemmwemmweffe
#fighthardmrupdate #fighthardmrupdates https://www.facebook.com/photo.php?fbid=1144322717357169&set=a.267870318335751&type=3
#simbakulutimbe Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; "Ssegiriinya yamala kumpi emyezi 4 ku kitanda mu Ddwaliro lya Aga Khan e Nairobi. Namukyalirako emirundi 6 naye sikubisaayo yadde ekifaananyi ekimu naye ngabalala bwebakola.
Abantu abamu abanaaba ensonyi bamukyalira kumukolamu ssente mu mbeera gyeyalimu."
#ffemmwemmweffe
#fighthardmrupdate
#fighthardmrupdates https://www.facebook.com/photo.php?fbid=1144326357356805&set=a.267870318335751&type=3
#simbakulutimbe Mwanyina wa Ssegiriinya abadde ku mukolo ogwategekeddwa Omubaka Mpuuga akukulumidde ekibiina kya National Unity Platform kyalumiriza okuwamba omubiri gwa muganda we.
#ffemmwemmweffe
#fighthardmrupdate
#fighthardmrupdates https://www.facebook.com/1006085467847562/videos/627553973167311
#simbakulutimbe Abadde Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Ssegiriinya Muhammad aka Mr. Updates aziikiddwa olunaku olwaleero ku kyalo Butale mu Disitulikiti y'e Masaka. Bingi byeyakolera Bannakawempe ne Bannayuganda ffwe kiki kyosinga okumujjukirako?
#ffemmwemmweffe
#fighthardmrupdates
#fighthardmrupdate https://www.facebook.com/1006085467847562/posts/1144333730689401
#simbakulutimbe Rt. Col. Dr. Kizza Besigye ne munne Hajji Obied Lutale Kamulegeya bakomezeddwawo ku Kkooti y'Amaggye e Makindye okuwulira okusaba kwabwe okwokweyimirirwa.
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/1006085467847562/videos/1241322436957782
#simbakulutimbe Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti Uganda Police Force ekyalinda kiragiro okuva ewa IGP eryoke eteekense mu nkola ekiragiro ekyaweebwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekyobutaddamu kuwa kuyimbula bamenyi b'amateeka ku kakalu ka Poliisi naddala abo abenyigira mu bubbi.
Bya @James Kamali
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/1006085467847562/videos/640884171731012
#simbakulutimbe Kitalo!
Abantu 2 bakubiddwa ekigambibwa okuba bbomu ne bafiirawo mu Njeru Municipality, mu Disitulikiti y'e Buikwe. Enjega eno egudde ku kyalo Triangle, abalonda sikulaapu gyebakolera ku luguudo lwa Nile - Kayunga. Okusinziira ku berabiddeko, bagamba basoose kuwulira kubwatuka okwamaanyi nebalowooza nti kabenje. Abebyokwerinda batuuse dda mu kitundu okunoonyereza ku kibaddewo.
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/1006085467847562/videos/953893880030646
#simbakulutimbe Bannamateeka ba Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye nga bakulembeddwamu Munnamateeka Munnansi wa Kenya Martha Karua bakalambidde nti baagala Kkooti y’Amaggye ereete munaabwe Eron Kiiza gweyakaliga emyezi 9 okuva mu kkomera e Kitalya akole omulimu ggwe kuba ali ku lukalala lwa Bannamateeka ba Besigye nga buli omu alina kyalina okukola ku musango guno. Karua agamba nti Kiiza alina omulimu ogwenjawulo gwalina okukola ku misango egivunaanibwa Besigye ne Hajji Obeid Kamulegeya nti bwatabaawo baba tebasobola kutambuza bulungi mulimu gwabwe kuba baba tebawera.
Bano basabye Kkooti emuleete basobole okwanguyirizibwa mu mulimu gwabwe.
Bannamateeka era balaze obweralikirivu ku Bammemba ba Kkooti eno abakyuusibwa entakera era wano webasabidde Ssentebe wa Kkooti eno Brig . Gen Freeman Mugabe aveeyo abakakase ku ngeri omusango gyegunatambulamu nga Bammemba bakyuusibwa. Kkooti esuubirwa okwanukula ku nsonga zino.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/photo.php?fbid=1145004650622309&set=a.267870325002417&type=3
#simbakulutimbe Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango avuddeyo k7 bagambibwa okubeera ababbi abakubiddwa amasasi akawungeezi kaleero ku Mawanda Road mu Kampala.
Bya Amayiko Martin
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/1006085467847562/videos/1596541147901877?st=89MTQhGGfbM
#simbakulutimbe Kitalo!
Abebyokwerinda basse abagambibwa okubeera ababbi ku luguudo lwa Mawanda Road olweggulo lwaleero nga bano babadde batambulira ku booda booda. Okusinziira ku mwogezi wa Kampala Metropolitan Police SSP Patrick Onyango agamba nti bano babadde nolukwe lwokubba ssente okuva ku kkasitoma abadde ava mu bbanka ya Stanbic.
Bya Amayiko Martin
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/1006085467847562/posts/1145083237281117
#simbakulutimbe Waliwo agambibwa okubeera omuzigu nga kigambibwa nti abadde ayagala kutemula wa booda booda amutwaleko piki piki ye mu bitundu by'Entebe nti wabula bwamutebuse neyefumita ekiso neyetta.
Bya Shanitah Nabwabye
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/1006085467847562/posts/1145104230612351
#simbakulutimbe Waliwo agambibwa okubeera omuzigu nga kigambibwa nti abadde ayagala kutemula wa booda booda amutwaleko piki piki ye mu bitundu by'Entebe nti wabula bwamutebuse neyefumita ekiso neyetta.
Bya Shanitah Nabwabye
#ffemmwemmweffe https://www.facebook.com/1006085467847562/posts/1145104230612351