Radiosimba
52 subscribers
4.36K photos
769 videos
4.84K links
The best Luganda Station in the World - Broadcasting exciting entertainment, news, humor and music from Uganda. 97.3 FM Ffe Mmwe Mmwe Ffe
Download Telegram
Uganda esobodde okujanjaba abantu 55 nebawona COVID-19
https://www.radiosimba.ug/uganda-esobodde-okujanjaba-abantu-55-nebawona-covid-19/

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Wadde nga tewaliiwo ddagala nga likyanoonyerezebwako, tusobodde okujanjaba abantu 55 nebawona era netubasiibula wadde nga tetulina ddagala lyeyawulidde nti lino lyetukozesezza era nga neyasooka yajanjabibwa okumala enaku 16.” M7Address #StaySafeUG
Omusirikale wa Poliisi avunaaniddwa gwakutta mutuuze
https://www.radiosimba.ug/omusirikale-wa-poliisi-avunaaniddwa-gwakutta-mutuuze/

Omusirikale wa Uganda Police Force nga ali ku ddaala lya Police Constable Stephen Wafula, olunaku lw’eggulo yasimbiddwa mu kkooti navunaanibwa omusango gw’okutta Vincent Sserunjje eyakubwa emiggo saaako namasasi nga 31.03.2020 mu Trading Center y’e Kisimbiri mu Disitulikiti y’e Wakiso, asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya era nga wakudda mu Kkooti nga 18-05-2020.
Poliisi esazeeko akatale k’ewa Kisekka
https://www.radiosimba.ug/poliisi-esazeeko-akatale-kewa-kisekka/

Uganda Police Force nga eri wamu ne LDU enkya yaleero bakedde kusalako Katale k’ewa Kisekka akatunda spare yadde nga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekiro kyajjo yakirizza Garage okuba nga ziggulawo okutandika okukola. Omwegezi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police tasobose kufunibwa okutangaaza ku lwaki abasuubuzi bagaaniddwa okuggulawo amadduuka ga spare.
Kati abakakwatibwa COVID-19 mu Yuganda baweze 97
https://www.radiosimba.ug/kati-abakakwatibwa-covid-19-mu-yuganda-baweze-97/

Minisitule y’Ebyobulamu evuddeyo netegeeza ng’Abantu abalala 8 bwebazuuliddwa nga balina ekirwadde kya #CIVID-19. Ku bano 6 ba Ddereeva era nga bavudde mu samples 2061 ezakebereddwa ate abalala 2 bavudde mu mbeerabantu. 1 ku bagiddwa mu mbeerabantu mutuuze w’e Kyotera ate omulala Ddereeva Munnayuganda okuva e Mutukula.Abakakwatibwa obulwadde bwa #COVID19UG bali 97, samples ezakebereddwa olunaku lw’eggulo […]
Amazzi gasazeeko akatale ka Port Bell
https://www.radiosimba.ug/amazzi-gasazeeko-akatale-ka-port-bell/

Abasuubuzi mu Katale ka Port Bell e Luzira basobeddwa eka ne mukibira oluvannyuma lw’amazzi mu Nnyanja Nalubaale okwanjaala mu katale konna nga beralikirivu bandikwatibwa ekirwadde kya cholera.
Ebyokwerinda mu Disulikiti y’e Namisindwa binywezeddwa
https://www.radiosimba.ug/ebyokwerinda-mu-disulikiti-ye-namisindwa-binywezeddwa/

Eggye lya Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF akawungeezi k’eggulo yayongedde okunyweza mu byokwerinda mu Disitulikiti y’e Namayingo okunyweza ebyokwerinda ku nsalo. Lt. Col. Fred Mwesigye, omuduumizi w’ekibinja ekisooka bweyategeezezza COVID-19 DTF mu lukiiko olwabadde ku kitebe kya Disitulikiti.
Poliisi siyakuva ku katale k’ewa Kisekka – Patrick Onyango
https://www.radiosimba.ug/poliisi-siyakuva-ku-katale-kewa-kisekka-patrick-onyango/

Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti nga Uganda Police Force bwejja okugenda mu maaso okuteekesa ebiragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu nkola era nga bakwekalirizza nnyo ebifo ebiyinza okuba nga tebyategedde bulungi ebiragiro bino nga akatale k’ewa Kisekka. Onyango agamba nti gano madduuka ga spare so ssi garage. Onyango agamba […]
Cristiano Ronaldo yateebera Real Madrid Hat-tricks 44
https://www.radiosimba.ug/cristiano-ronaldo-yateebera-real-madrid-hat-tricks-44/

#SimbaSportsUpdates; Leero giweze emyaka 10, bukyanga nga Cristiano Ronaldo ateeba hat trick ye esooka kwezo 44 eza Real Madrid C.F. 👑
Ababaka ba NRM basabye wateekebwewo Constituency COVID-19 task force
https://www.radiosimba.ug/ababaka-ba-nrm-basabye-wateekebwewo-constituency-covid-19-task-force/

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Leero nsisinkanye n’akakiiko k’Ababaka ba Palamenti okuva mu kabondo k’Ababaka ba National Resistance Movement – NRM mu State House Uganda Entebe. Tukiriziganyizza ku kirowoozo kyokuteekawo Constituency COVID-19 task force okwetoloola Yuganda kiyambe Ababaka okuyisaamu obuyambi eri Abantu baabwe bebakiikirira okusobola okukkakanya ku pressure ebateekebwako.”
Abakakwatibwa COVID-19 mu Yuganda baweze 98
https://www.radiosimba.ug/abakakwatibwa-covid-19-mu-yuganda-baweze-98/

Olunaku lw’eggulo Minisitule y’Ebyobulamu yavuddeyo nerangirira nga omuntu omulala omu bweyazuuliddwa nga alina ekirwadde kya #COVID-19. Ku samples 2168 ezakebereddwa, Ddereeva Munnansi wa Kenya ow’emyaka 27 nga yayise Busia. Zo samples 464 okuva mu mbeerabantu zonna zabadde Negative. Abakakwatibwa obulwadde bwa #COVID19UG bali 98 mu Yuganda.
Munnakisinde kya People Power bamukutte e Iganga nga agaba emmere
https://www.radiosimba.ug/munnakisinde-kya-people-power-bamukutte-e-iganga-nga-agaba-emmere/

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Iganga ekutte Munnakisinde kya People Power – Uganda era Munnamateeka Muganga Francis lwakugabira batuuze abali mu bwetaavu emmere. Ono akuumirwa ku Poliisi y’e Iganga nga bwalindirira okutwalibwa mu Kkooti avunaanibwe.
Omuntu atalantuse naggwa e Kawempe
https://www.radiosimba.ug/omuntu-atalantuse-naggwa-e-kawempe/

Wabaddewo akasattiro e Kawempe mu maaso ga Kiseera supermarket oluvannyuma lw’omusajja atannategeerekeka okunogoka nagwa. Ono abadde atambuza bigere nga kireese okutya mu Bantu ngabamu bagamba nti yandiba n’ekirwadde kya #COVID-19 oba njala.
Abantu 6 basindikiddwa mu Kkooti y’Amaggye e Makindye
https://www.radiosimba.ug/abantu-6-basindikiddwa-mu-kkooti-yamaggye-e-makindye/

Akakiiko k’eggye ly’eggwanga Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF akakwasisa empisa aka Unit Disciplinary Committee (UDC) akatudde ku kitebe kya Chieftaincy of Military Intelligence – CMI e Mbuya esindise abantu ababulijjo 5 wamu n’omusirikale omu mu Kkooti y’amaggye e Makindye bavunaanibwe.Col. Tom Kabuye Ssentebe wa UDC bwabadde asoma emisango gino agambye nti Erepu Joakim yasangibwa […]
Vice President Ssekandi awaddeyo obukadde 20 eri Task Force
https://www.radiosimba.ug/vice-president-ssekandi-awaddeyo-obukadde-20-eri-task-force/

Omumyuuka w’Omukulembeze w’Eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi atutte obukadde 20 obwamuweebwa Palamenti naziwa COVID Task Force ya Disitulikiti.Bya; Maggie Kayondo